Psalms 75

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.

1 aTukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 bKyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 cNalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.

6Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 dwabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 e Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

9 fNaye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 g Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.
Copyright information for LugEEEE